×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 101

1
Nnaayimbanga ku bwesigwa n'amazima: Ggwe, Ayi Mukama, gwe nnaayimbiranga okukutendereza.
2
Nnaatambulanga n'amagezi mu kkubo ery'obutuukirivu: Woowe, olijja ddi gye ndi? Nnaatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.
3
Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange.
4
Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi.
5
Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'amuzikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.
6
Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ery'obutuukirivu ye anaampeerezanga.
7
Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima taabeerenga mu maaso gange.
8
Buli nkya nnaazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes