×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 102

1
Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, n'okukaaba kwange kutuuke gy'oli.
2
Totunula bbali nga ndi mu buzibu. Wulira kye ŋŋamba, bwe nkowoola onziremu mangu,
3
Obulamu bwange buggwaawo ng'omukka, n'omubiri gwange gwokebwa ng'omumuli.
4
Nkubiddwa ne mpotoka ng'omuddo, n'agalya emmere sirina.
5
Nsigaddeko magumba na lususu, nga kiva ku kusinda nnyo.
6
Ndi ng'ekinyonyi eky'omu ddungu, nfuuse ng'ekiwuugulu mu matongo.
7
Sikyebaka ku tulo, ndi ng'ennyonyi eri yokka, ku kitikkiro ky'ennyumba.
8
Abalabe bange banvuma olunaku lwonna, abanjerega, bakozesa erinnya lyange nga bakolima.
9
Kati evvu lye ndya ng'emmere, bye nnywa ntabulamu amaziga,
10
kubanga wansunguwalira n'onyiiga, wanneggyako n'onsuula.
11
Obulamu bwange kye kisiikirize eky'olweggulo ekiggwaawo, era mpotose ng'omuddo.
12
Naye ggwe ayi Mukama, obeerawo emirembe gyonna, era omanyibwa aba buli mulembe.
13
Olijja n'okwatirwa Siyooni ekisa, ekiseera kituuse okumusaasira, ddala buno bwe budde.
14
Abaweereza bo baagala nnyo Siyooni, basaalirwa okulaba bwe kizikiridde!
15
Amawanga gonna galitya Mukama, bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kye.
16
Mukama bw'alizimba Siyooni obuggya, alimanyisa ekitiibwa kye.
17
Aliwulira okusaba kw'abanaku, talinyooma kwegayirira kwabwe.
18
Kino kiwandiikirwe ab'omulembe ogujja, abalizaalibwa batendereze Mukama,
19
nti yatunula wansi ng'asinziira awatukuvu awagulumivu, yatunula wansi ng'asinziira mu ggulu.
20
N'awulira okusinda kw'abasibe, n'asumulula ababadde ab'okutta,
21
abantu balyoke bamumanyise mu Siyooni, era bamutenderereze mu Yerusaalemu,
22
amawanga n'amatwale nga gakuŋŋaanye okusinza Mukama.
23
Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka, obulamu bwange abusazeeko.
24
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, tonzigyawo nga sinnakaddiwa, ggwe abeerawo emirembe gyonna.”
25
Edda n'edda ennyo watonda ensi, n'eggulu ggwe walikola wennyini.
26
Byo biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng'ekyambalo. Olibikyusa ng'ekyambalo, ne biggwaawo.
27
Naye ggwe tokyukako, n'obulamu bwo tebulikoma.
28
Abaana b'abaweereza bo balibeerawo ng'obakuuma. N'ezzadde lyabwe linaabeerangawo mu maaso go.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes