×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 102

1
Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, Okukaaba kwange kutuuke gy'oli.
2
Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange: Otege okutu kwo we ndi; Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu.
3
Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka, N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli.
4
Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng'omuddo; Kubanga nneerabira n'okulya emmere yange.
5
Olw'eddoboozi ery'okusinda kwange Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange.
6
Nninga kimbala ow'omu ddungu; Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko.
7
Ngalamira nga ntunula, era ninga, Enkazaluggya etuula ku kitikkiro ky'ennyumba yokka.
8
Abalabe bange bazibya obudde nga banvuma; Abanjerega, bakozesa erinnya nga bakolima.
9
Kubanga ndidde evvu ng'omugaati, Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga.
10
Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo: Kubanga wannonda n'onsuula.
11
Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo; Era mpotose ng'omuddo.
12
Naye ggwe, Ayi Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.
13
Oligolokoka, olisaasira Sayuuni: Kubanga obudde butuuse okumusaasira, Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse.
14
Kubanga abaddu bo basanyukira nnyo Sayuuni, Era basaalirwa okulaba nga bwe kizikiridde.
15
Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama, Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo:
16
Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni, Alabikidde mu kitiibwa kye;
17
Alowoozezza ku kusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe.
18
Ekyo kiwandiikirwe ab'emirembe egirijja: N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama.
19
Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu; Mukama yalaba ensi ng'asinziira mu ggulu;
20
Okuwulira okusinda kw'omusibe; Okusumulula abo abateekerwawo okufa;
21
Abantu balyoke batenderezenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni, N'ettendo lye mu Yerusaalemi;
22
Amawanga gonna galikuŋŋaana awamu, N'amatwale, okusinza Mukama.
23
Mukama yakendeeza ku maanyi gange nga nkyali muvubuka; Ennaku zange azisazeeko.
24
Ne njogera nti Ayi Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.
25
Edda n'edda ennyo watonda ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.
26
Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga: Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Olibiwaanyisa ng'ekyambalo, n'ebyo biriwaanyisibwa:
27
Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.
28
Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo. N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes