×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 103

1
Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama, buli ekiri mu nze kimutendereze.
2
Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama, era teweerabira ebirungi byonna by'akola.
3
Yakusonyiwa ebibi byo byonna, n'akuwonya obulwadde bwo bwonna.
4
Obulamu bwo yabuwonya okuzikirira, era n'akuwa omukisa olw'ekisa kye n'okusaasira kwe.
5
Obulamu bwo abujjuza ebirungi, obuvubuka bwo ne budda buggya ng'obw'empungu.
6
Mukama wa mazima, asala emisango, abanyigirizibwa ne basinga.
7
Yamanyisa Musa entegeka ze, n'alaga Abayisirayeli ebikolwa bye.
8
Mukama musaasizi, asonyiwa, alwawo okusunguwala, era wa kisa nnyo.
9
Taanenyenga lugenderezo, taasibenga busungu bulijjo.
10
Tatubonereza nga bwe tusaanira, era tatusasula kisaanira bikolwa byaffe ebibi.
11
Ng'eggulu bwe lyesudde ennyo ensi, n'ekisa kye gye kikomya okuba ekingi ku abo abamussaamu ekitiibwa.
12
Ng'ebuvanjuba bwe weesudde ebugwanjuba, bw'atyo bw'atuggyako ebibi byaffe, ne bitubeera wala.
13
Nga kitaawe w'abaana bw'asaasira abaana be, bw'atyo ne Mukama bw'asaasira abamussaamu ekitiibwa.
14
Amanyi bwe twakolebwa, ajjukira nga tuli nfuufu.
15
Ekiseera ky'obulamu bw'omuntu, kiba kitono ng'eky'omuddo. Akula n'ayanya ng'ekimuli ky'omu ttale.
16
Embuyaga zikiyitako nga zikunta, ne kigenda ne kitaddawo we kibadde.
17
Naye okuva edda n'edda Mukama akwatirwa ekisa abamussaamu ekitiibwa, era obulungi bwe abulaga abaana b'abaana baabwe.
18
Abulaga abatuukiriza endagaano ye, ne banyiikira okukola by'ayagala.
19
Mu ggulu Mukama mwe yanyweza entebe ye, era ye Kabaka afuga byonna.
20
Mutendereze Mukama mmwe bamalayika be, ab'amaanyi abakola by'alagira, era abawulira by'agamba.
21
Mutendereze Mukama mmwe ab'omu ggye lye, mmwe abaweereza be abakola by'ayagala.
22
Mutendereze Mukama mmwe ebitonde bye mwenna mu bifo by'afuga byonna. Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes