|
| 1 |
|
| Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu. |
|
| 2 |
|
| Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna: |
|
| 3 |
|
| Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna; |
|
| 4 |
|
| Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi: |
|
| 5 |
|
| Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda buggya ng'obw'empungu. |
|
| 6 |
|
| Mukama akola eby'obutuukirivu, Asala emisango mu mazima olw'abo bonna abajoogebwa. |
|
| 7 |
|
| Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri. |
|
| 8 |
|
| Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. |
|
| 9 |
|
| Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna. |
|
| 10 |
|
| Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. |
|
| 11 |
|
| Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya. |
|
| 12 |
|
| Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atuggyako ebyonoono byaffe, ne bitubeera wala. |
|
| 13 |
|
| Nga kitaawe wa baana bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya. |
|
| 14 |
|
| Kubanga amanyi omubiri gwaffe bwe gwakolebwa; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu. |
|
| 15 |
|
| Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo. |
|
| 16 |
|
| Kubanga empewo zikikuntako, ne kibanga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate. |
|
| 17 |
|
| Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana; |
|
| 18 |
|
| Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola. |
|
| 19 |
|
| Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna. |
|
| 20 |
|
| Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza by'alagira, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye! |
|
| 21 |
|
| Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala. |
|
| 22 |
|
| Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. |
|
|
|
|