×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 104

1
Ggwe omwoyo gwange tendereza Mukama. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo. Oyambadde ekitiibwa n'obukulu.
2
Weebikka ekitangaala ng'ekyambalo, otimba eggulu ng'eweema.
3
Ozimba ennyumba yo ku mazzi aga waggulu, ofuula ebire ekigaali kyo, ne weebagala ku biwaawaatiro by'embuyaga.
4
Embuyaga ogifuula ababaka bo, omuliro n'ennimi zaagwo obifuula abaweereza bo.
5
Wateeka ensi ku misingi gyayo, eremenga kunyeenyezebwa ennaku zonna.
6
Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo, amazzi ne gabikka ensozi.
7
Bwe wagakayukira, ne gadduka; gaakulugguka bwe gaawulira eddoboozi lyo bwe libwatuka.
8
Gaakulukutira ku nsozi, ne gaserengetera mu biwonvu, ne gatuuka mu kifo kye wagateerawo.
9
Wagateerawo ensalo gye gatayinza kusukka, galeme kuddamu okubikka ensi.
10
Okulukusa ensulo z'amazzi mu biwonvu, emigga ne gikulukutira wakati w'ensozi.
11
Ebisolo binywa amazzi, entulege ne ziwona ennyonta.
12
Ebinyonyi bizimba ebisu byabyo era biyimbira mu miti egiriraanyeewo.
13
Enkuba eva mu bire ogitonnyesa ku nsozi, ensi n'ejjula ebibala by'ogibazisa.
14
Omeza omuddo gw'ensolo, n'ebimera ebigasa abantu. Abantu ne bakuza ebirime byabwe,
15
mwe baggya omwenge ogw'emizabbibu ogubasanyusa, n'omuzigo ogubanyiriza, era n'emmere ebawa amaanyi.
16
Enkuba ennyingi y'efukirira emivule, Mukama gye yameza mu Lebanooni.
17
Mu gyo ebinyonyi byezimbira ebisu, ne ssekanyolya mw'azuula w'asula.
18
Ennangaazi zisula ku nsozi empanvu, obumyu bwekweka mu njazi.
19
Wateekawo omwezi okubala ebiro. Enjuba, essaawa y'okugwa egimanya.
20
Bw'ossaawo ekizikiza, ne buba kiro, ebisolo byonna eby'omu ttale ne bivaayo.
21
Empologoma ento ziwuluguma, nga ziyigga kye zinaalya, ne zinoonya ekyokulya Katonda ky'anaaziwa.
22
Enjuba bw'evaayo, ne ziddayo, ne zeebaka mu mpuku zaazo.
23
Olwo abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe, ne bakola okutuusa akawungeezi.
24
Ayi Mukama, nga bye wakola bingi nnyo! Byonna wabikozesa magezi. Ensi ejjuddemu ebitonde byo.
25
Waliwo ennyanja ennene engazi, omuli ebiramu ebitabalika. Mulimu ebitono n'ebinene.
26
Amaato gaseeyeeyerako. Ne Lukwata, ekikulejje kye watonda, kizannyira omwo.
27
Byonna ggwe bitunuulira, obiwe emmere buli lwe bigyetaaga.
28
Ggwe obigabula ne birya, obigabira ne bikkuta.
29
Bw'otunula ebbali, ne byeraliikirira, bw'obiggyamu omukka, ne bifa, ne bidda mu nfuufu mwe byava.
30
Bw'obiteekamu omukka ne biba biramu, ensi n'ogizza buggya.
31
Ekitiibwa kya Mukama kibe kya lubeerera, Mukama asanyukire bye yakola.
32
Atunuulira ensi, n'ekankana; akwata ku nsozi ne zinyooka omukka.
33
Obulamu bwange bwonna nnaayimbiranga Mukama, nnaayimbanga okumutendereza okutuusa lwe ndifa.
34
Okwebuulirira kwange kumusanyusenga, kubanga nsanyukira by'akola.
35
Aboonoonyi bazikirire baggweewo mu nsi, ababi baleme kusigalawo. Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama. Mutendereze Mukama.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes