×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 104

1
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; Oyambadde ekitiibwa n'obukulu.
2
Yeebikka omusana ng'ekyambalo; Atimba eggulu ng'eweema:
3
Asimba empagi ez'enju ze mu mazzi; Afuula ebire eggaali lye; Atambulira ku biwaawaatiro by'empewo:
4
Afuula ababaka be empewo; N'abaweereza be omuliro ogwaka:
5
Eyasimba emisingi gy'ensi, Ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.
6
Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo; Amazzi ne gaanjaala waggulu w'ensozi.
7
Ggwe bwe waganenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda;
8
Gaalinnya ku nsozi, gaaserengetera mu biwonvu, Ne gatuuka mu kifo kye wagateekerawo.
9
Wagalagira ensalo gye gatayinza kusukkako; Galeme okudda nate okubikka ku nsi.
10
Aleeta enzizi mu biwonvu; Zikulukuta mu nsozi:
11
Zinywesa ensolo zonna ez'omu nsiko; Entulege ne ziwona ennyonta.
12
Ennyonyi ez'omu bbanga zizimba ebisu byazo ne zituula omwo, Ziyimbira mu matabi g'emiti.
13
Enkuba eva mu bire ogitonnyesa ku nsozi: Ensi n'ekkuta ebibala eby'emirimu gyo.
14
Amereza ente essubi, N'ebimera ebigasa abantu; Balyoke baggyenga emmere mu ttaka;
15
N'omwenge ogusanyusa omutima gw'abantu, N'amafuta ganyirizenga amaaso ge, N'emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe.
16
Emiti gya Mukama enkuba egifukirira; Emivule gya Lebanooni gye yasimba;
17
Ennyonyi gye zikoleramu ebisu byazo: Kasida, emiberoosi ye nnyumba ye.
18
Ensozi empanvu ziba za mbulabuzi; Amayinja kye kiddukiro ky'obumyu.
19
Yateekerawo omwezi ebiro: Enjuba emanyi essaawa y'okugwa kwayo.
20
Ggwe oleeta ekizikiza, ekiro ne kibaawo; Ensolo zonna ez'omu kibira mwe zifulumira nga zisooba.
21
Empologoma ento ziwuluguma nga ziyigga kye zinaalya, Era zinoonya emmere yaazo eri Katonda.
22
Enjuba n'evaayo, ne zigenda, Ne zeebaka mu mpuku zaazo.
23
Abantu ne bagenda ku mulimu gwabwe Ne bakola okutuusa akawungeezi.
24
Ayi Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: Ensi ejjudde obugagga bwo.
25
Ennyanja eri, ennene engazi, Omuli ebyewalula ebitabalika, Ebisolo ebitono era n'ebinene.
26
Amaato gaseeyeeyerako; Lukwata naye mwali, gwe wakola okuzannyira omwo.
27
Ebyo byonna bikulindirira ggwe, Obiwe emmere yaabyo mu ntuuko zaayo.
28
Gy'obiwa gye bikuŋŋaanya; Oyanjuluza engalo zo, ne bikkuta ebirungi.
29
Okisa amaaso go, ne byeraliikirira; Obiggyamu omukka gwabyo, ne bifa, Ne bidda mu nfuufu mwe byava.
30
Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa; Era ensi n'ogizza buggya.
31
Ekitiibwa kya Mukama kibeere kya kubeerera; Mukama asanyukire emirimu gye:
32
Atunuulira ensi, n'ekankana; Akwata ku nsozi, ne zinyooka.
33
Nnaayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
34
Okulowooza kwange kumusanyusenga: Nange nnaasanyukiranga Mukama.
35
Ababi bazikirire baggweewo ku nsi, Aboonoonye baleme okubeerawo nate. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Mumutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes