|
| 1 |
|
| Mwebaze Mukama, mumukoowoole, mumanyise amawanga bye yakola. |
|
| 2 |
|
| Mumuyimbire, muyimbe mumutendereze, mwogere ku byamagero byonna bye yakola. |
|
| 3 |
|
| Mwenyumiririze mu ye Omutuukirivu, abeeyuna Mukama basanyuke. |
|
| 4 |
|
| Mweyune Mukama era n'amaanyi ge, mumweyunenga bulijjo. |
|
| 5 |
|
| Mujjukire ebyamagero n'ebyewuunyo bye yakola, era n'emisango gye yasala, |
|
| 6 |
|
| mmwe ezzadde lya Aburahamu omuweereza we, mmwe bazzukulu ba Yakobo abalondemu be. |
|
| 7 |
|
| Ye Mukama Katonda waffe, ye asalawo ensonga z'ensi zonna. |
|
| 8 |
|
| Ajjukira endagaano ye bulijjo, ne bye yasuubiza emirembe olukumi. |
|
| 9 |
|
| Ye ndagaano gye yakola ne Aburahamu ne bye yasuubiza Yisaaka ng'alayira n'okulayira. |
|
| 10 |
|
| Ye ndagaano gye yanyweza ne Yakobo, n'eba ya lubeerera ne Yisirayeli. |
|
| 11 |
|
| Yagamba nti: “Ndibawa ensi ya Kanaani, eribeerera ddala yammwe ku bwammwe.” |
|
| 12 |
|
| Baali bakyali batono nga tebannawera, era nga batambuze mu nsi eyo, |
|
| 13 |
|
| nga batambula okuva mu nsi emu okudda mu ndala, okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala. |
|
| 14 |
|
| Kyokka teyabaako gw'akkiriza kubabonyaabonya. Okubataasa, yalabula bakabaka nti: |
|
| 15 |
|
| “Temuukwatenga ku basiige bange, n'abalanzi bange temuubakolengako kabi.” |
|
| 16 |
|
| Awo n'aleeta enjala mu nsi eyo, n'abaggyako emmere yaabwe yonna. |
|
| 17 |
|
| Yatuma omuntu okubakulemberamu, ye Yosefu eyatundibwa okuba omuddu. |
|
| 18 |
|
| Ebigere bye baabirumya, nga babisiba n'enjegere, ne bamusiba ekyuma mu bulago, |
|
| 19 |
|
| okutuusa nga kye yali ayogedde kimaze okutuukirira. Ekigambo kya Mukama kyakakasa nti yali mutuufu. |
|
| 20 |
|
| Kabaka w'e Misiri yatuma ne bamusumulula, omufuzi w'amawanga n'amuta. |
|
| 21 |
|
| N'amuwa obukulu mu nnyumba ye, n'amukwasa okulabirira ebibye byonna, |
|
| 22 |
|
| aluŋŋamyenga abalangira nga bw'ayagala, era awenga abakungu be amagezi. |
|
| 23 |
|
| Olwo Yisirayeli n'ajja e Misiri, Yakobo n'asenga mu nsi ya Haamu. |
|
| 24 |
|
| Mukama n'awa abantu be okuzaala ennyo, n'abawa n'amaanyi okusinga abalabe baabwe. |
|
| 25 |
|
| N'awa Abamisiri okukyawa abantu be, n'okusalira abaweereza be enkwe. |
|
| 26 |
|
| N'atuma Musa omuweereza we, ne Arooni gwe yalonda. |
|
| 27 |
|
| Ne bakola ebyewuunyo bye mu Bamisiri, n'ebyamagero mu nsi ya Haamu. |
|
| 28 |
|
| Mukama n'aleeta ekizikiza ne kikwata ku nsi, Abamisiri ne bajeemera ebigambo bye. |
|
| 29 |
|
| Emigga gyabwe n'agifuula omusaayi, ebyennyanja byabwe ne bifa. |
|
| 30 |
|
| Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, ne biyingira ne mu bisenge bya kabaka waabwe. |
|
| 31 |
|
| Mukama n'awa ekiragiro ebibinja by'ensowera n'obutugu ne bijja mu nsi yaabwe yonna. |
|
| 32 |
|
| N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, n'okumyansa ne kubuna mu nsi yaabwe. |
|
| 33 |
|
| N'azikiriza emizabbibu n'emitiini gyabwe, n'amenya n'emiti gyonna mu nsi yaabwe. |
|
| 34 |
|
| N'alagira enzige ne zijja, ne bulusejjera ne buba bungi obutabalika. |
|
| 35 |
|
| Ne zirya ebimera byonna mu nsi yaabwe, ne zirya n'ebibala byabwe byonna. |
|
| 36 |
|
| N'atta batabani baabwe abaggulanda bonna mu nsi yaabwe. |
|
| 37 |
|
| N'alyoka aggyayo Abayisirayeli nga balina ffeeza ne zaabu, nga bonna balamu era ba maanyi. |
|
| 38 |
|
| Abamisiri ne basanyuka bwe baagenda, kubanga baali babakubye entiisa. |
|
| 39 |
|
| Mukama n'ayanjuluza ekire okubabikka, n'assaawo n'omuliro okubawa ekitangaala ekiro. |
|
| 40 |
|
| Ne basaba, n'abawa entiitiri, era n'abakkusa n'omugaati oguva mu ggulu. |
|
| 41 |
|
| Yayasa olwazi, amazzi ne gafumbukuka, ne gakulukuta mu ddungu ng'omugga, |
|
| 42 |
|
| kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu kye yasuubiza Aburahamu omuweereza we. |
|
| 43 |
|
| Kyeyava aggyayo abantu be, be yalonda, ne bavaayo nga basanyuka era nga bayimba. |
|
| 44 |
|
| N'abawa ensi z'ab'amawanga amalala, ne bafuna ebyo abalala bye baateganira okulima, |
|
| 45 |
|
| balyoke bakwatenga ebiragiro bye, era bakuumenga amateeka ge. Mutendereze Mukama. |
|
|
|
|