×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 105

1
Mumwebazenga Mukama, Mukoowoole erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga.
2
Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by'amagero bye byonna.
3
Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
4
Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.
5
Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango gye yasala;
6
Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7
Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna.
8
Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi (1,000);
9
Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
10
N'ekyo nnaakinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo:
11
Ng'ayogera nti, “Mmwe ndibawa ensi ya Kanani, ebeere omugabo ogw'obusika bwammwe,”
12
Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe: Weewaawo, abatono ennyo, era nga batambuze mu nsi omwo;
13
Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
14
Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
15
Ng'ayogera nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange!”
16
N'ayita enjala okugwa ku nsi; N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe.
17
Yabakulembeza omuntu; Yusufu yatundibwa okuba omuddu:
18
Ebigere bye baabirumya enjegere; Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma:
19
Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira; Ekigambo kya Mukama kyamukemanga.
20
Kabaka yatuma n'amusumulula; Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala.
21
N'amufuula omukulu w'ennyumba ye, N'amuteresa ebintu bye byonna:
22
Okutendeka abalangira be nga bw'ayagala, N'okuyigiriza abakungu be amagezi.
23
Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu.
24
N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.
25
N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be.
26
N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda.
27
Ne bakola obubonero bwe, mu Misiri; N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu.
28
N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata; Naye ne bajeemera ebigambo bye.
29
N'afuula amazzi gaabwe omusaayi, N'atta ebyennyanja byabwe.
30
Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, ne biyingira ne mu bisenge bya bakabaka baabwe.
31
N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja, N'ensekere ne zibuna mu nsalo zaabwe zonna.
32
N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, N'okumyansa ne kubuna mu nsi yaabwe.
33
Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe; N'amenya emiti egy'omu nsalo zaabwe.
34
N'ayogera, enzige ne zijja, Ne bulusejjera ne buba bungi, omuwendo gwabwo tegwabalika,
35
Ne bulya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe, Ne bulya ebibala eby'ettaka lyabwe.
36
Era n'atta n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe, Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna.
37
N'abaggyamu Abaisiraeri nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu n'omu mu bika byabwe.
38
Misiri n'esanyuka bwe baagenda; Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko.
39
N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gubaakirenga ekiro.
40
Ne basaba, n'aleeta obugubi, N'abakkusa emmere ey'omu ggulu.
41
N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika; Ne gakulukuta mu bifo ebikalu ng'omugga.
42
Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu, Ne Ibulayimu omuddu we.
43
N'aggyamu abantu be n'essanyu, N'abalonde be n'okuyimba.
44
N'abawa ensi ez'amawanga; Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga:
45
Balyoke bakwatenga ebiragiro bye, Beekuumenga amateeka ge. Mumutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes