|
| 1 |
|
| Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 2 |
|
| Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe; |
|
| 3 |
|
| N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiikakkono ne mu bwa ddyo. |
|
| 4 |
|
| Abamu baataataaganira mu ddungu omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu. |
|
| 5 |
|
| Baalumibwa enjala n'ennyonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo. |
|
| 6 |
|
| Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikirira kwabwe. |
|
| 7 |
|
| Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu. |
|
| 8 |
|
| Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! |
|
| 9 |
|
| Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi. |
|
| 10 |
|
| Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n'ennaku n'ekyuma; |
|
| 11 |
|
| Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo; |
|
| 12 |
|
| Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba. |
|
| 13 |
|
| Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe. |
|
| 14 |
|
| N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe. |
|
| 15 |
|
| Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! |
|
| 16 |
|
| Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma. |
|
| 17 |
|
| Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa. |
|
| 18 |
|
| ne batamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa. |
|
| 19 |
|
| Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe. |
|
| 20 |
|
| Atuma ekigambo kye, n'abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe. |
|
| 21 |
|
| Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! |
|
| 22 |
|
| Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba. |
|
| 23 |
|
| Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi; |
|
| 24 |
|
| Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba. |
|
| 25 |
|
| Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo. |
|
| 26 |
|
| Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku. |
|
| 27 |
|
| Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze. |
|
| 28 |
|
| Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe. |
|
| 29 |
|
| Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka. |
|
| 30 |
|
| Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu. |
|
| 31 |
|
| Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! |
|
| 32 |
|
| Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde. |
|
| 33 |
|
| Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu; |
|
| 34 |
|
| Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo. |
|
| 35 |
|
| Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi. |
|
| 36 |
|
| Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu; |
|
| 37 |
|
| Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera. |
|
| 38 |
|
| Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera. |
|
| 39 |
|
| Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala. |
|
| 40 |
|
| Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo. |
|
| 41 |
|
| Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo. |
|
| 42 |
|
| Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo. |
|
| 43 |
|
| Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama. |
|
|
|
|