Luganda Bible
|
| 1 |
| Omutima gwange gunywedde, ai Katonda; Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange. |
| 2 |
| Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze naakeera nnyo okuzuukuka. |
| 3 |
| Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga: Era naayimbanga okukutendereza mu bantu. |
| 4 |
| Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu: N'amazima go gatuuka mu ggulu. |
| 5 |
| Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu: N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna. |
| 6 |
| Muganzi wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu. |
| 7 |
| Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi. |
| 8 |
| Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. |
| 9 |
| Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto Yange Ndyogerera waggulu ku Firisutiya. |
| 10 |
| Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu? |
| 11 |
| Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe. |
| 12 |
| Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu. |
| 13 |
| Katonda ye alitukoza eby'obuzira: Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/108.mp3
150
108