×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 108

1
Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; Omutima gwange munywevu! Naayimba, ne nkusuuta, okutendereza, zuukuuka, ggwe mwoyo gwange!
2
Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze nnaakeera nnyo okuzuukuka.
3
Nnaakwebazanga ggwe, Ayi Mukama, mu mawanga; Era nnaayimbanga okukutendereza mu bantu.
4
Kubanga okusaasira kwo kutuuka ku ggulu, N'amazima go gatuuka ku bire.
5
Ogulumizibwe, Ayi Katonda, okusinga eggulu; N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
6
Omwagalwa wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
7
Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu, Olw'okugulumizibwa, ndisala mu Sekemu, era ndigabaanyamu ekiwonvu ekya Sukkosi.
8
Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
9
Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange, Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10
Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11
Totusudde, Ayi Katonda? So totabaala, Ayi Katonda, n'eggye lyaffe.
12
Otuyambe eri omulabe, Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
13
Katonda ye alitukoza eby'obuzira, Kubanga oyo ye alinnyirira abalabe baffe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes