|
| 1 |
|
| Ayi Katonda gwe ntendereza, tosirika busirisi. |
|
| 2 |
|
| Ababi n'abalimba boogera nga bampaayiriza. |
|
| 3 |
|
| Banjogerera eby'obukyayi bannumbaganira bwereere. |
|
| 4 |
|
| Wadde mbaagala, bo bampalana. Nze kye nkola, kubasabira. |
|
| 5 |
|
| Mu kirungi bampaamu kibi. Nze mbaagala, bo bankyawa. |
|
| 6 |
|
| Omulabe wange omusseeko omuntu omubi, n'omu ku balabe be ye aba amulumiriza. |
|
| 7 |
|
| Bw'awozesebwa, bagusale gumusinge, n'okwewolereza kwe kubalibwe ng'ekibi. |
|
| 8 |
|
| Ekiseera ky'obulamu bwe kikendeere, omulimu gwe gutwalibwe omulala. |
|
| 9 |
|
| Abaana be babe bamulekwa, mukazi we abe nnamwandu. |
|
| 10 |
|
| Abaana be babe bakireereese, basabirizenga. Bagobwenga mu bifulukwa bye basulamu. |
|
| 11 |
|
| Amubanja anyage by'alina, abagwira baaye byonna bye yakolerera. |
|
| 12 |
|
| Abulwe amukwatirwa ekisa, wadde alabirira abaana be b'alese nga bamulekwa. |
|
| 13 |
|
| Ezzadde lye life liggweewo, aleme kujjukirwa mu mirembe egiriddirira. |
|
| 14 |
|
| Mukama ajjukire ebibi bya bajjajjaabe, n'ekibi kya nnyina kireme kusonyiyibwa. |
|
| 15 |
|
| Bijjukirwenga Mukama ennaku zonna, naye bo beerabirirwe ddala ku nsi, |
|
| 16 |
|
| kubanga teyalina kisa. Yayigganya abaavu n'abali mu bwetaavu, era n'abaterebuse, okubatta. |
|
| 17 |
|
| Ye ayagala okukolima, k'akolimirwe. Teyayagaliza balala mikisa, naye ka gimwesambe. |
|
| 18 |
|
| Okukolima yakufuula ng'ekyambalo kye, ka kumuyingire mu mubiri ng'amazzi, ne mu magumba ng'omuzigo. |
|
| 19 |
|
| Ebikolimo bimubikke ng'ekyambalo, era abyesibe bulijjo ng'olukoba. |
|
| 20 |
|
| Ebyo Mukama by'aba aweera abalabe bange, aboogera obubi ku bulamu bwange. |
|
| 21 |
|
| Naye ggwe, ayi Mukama Katonda wange, nnyamba nga bwe wasuubiza. Mponya olw'ekisa kyo ekirungi, |
|
| 22 |
|
| kubanga ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, nkoseddwa mu mutima. |
|
| 23 |
|
| Nnaatera okuggwaawo ng'ekisiikirize, nsammulwa eri ng'enzige. |
|
| 24 |
|
| Amaviivi gange ganafuye olw'obutalya, nkozze nsigadde magumba. |
|
| 25 |
|
| Abandaba banvuma, banyeenya n'emitwe olw'okungaya. |
|
| 26 |
|
| Nnyamba, ayi Mukama Katonda wange, mponya olw'ekisa kyo, |
|
| 27 |
|
| balyoke bamanye nti Mukama ggwe omponyezza. |
|
| 28 |
|
| Kale bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa. Oswaze abanjigganya, naye nze omuweereza wo nsanyuke. |
|
| 29 |
|
| Abalabe bange bambale okuswala, babikkibwe ensonyi ng'ekyambalo. |
|
| 30 |
|
| Ndyebaza Mukama mu ddoboozi ery'omwanguka, ndimutenderereza mu lukuŋŋaana lw'abantu, |
|
| 31 |
|
| kubanga ataasa omwavu, n'amuwonya amusalira ogw'okufa. |
|
|
|
|