×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 109

1
Tosirika, Ayi Katonda gwe ntendereza;
2
Kubanga abantu ababi banjogeddeko eby'obulimba. Boogedde nange n'olulimi olulimba.
3
Banfukumulidde ebigambo eby'obukyayi, Ne bannumbagana awatali nsonga.
4
Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange; Naye nze nsaba.
5
Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange.
6
Omusseeko omuntu omubi, Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.
7
Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi.
8
Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe.
9
Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu.
10
Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11
Amubanja ajje awambe byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye.
12
Anaamwongerako ekisa amubule; wadde akolera eby'ekisa abaana be baalese naye abule.
13
Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.
14
Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama; So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.
15
Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.
16
Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'abo abalina omutima ogunakuwadde n'abatuusa ne ku kufa.
17
Yayagalanga nnyo okukolima, leka ebikolimo bimuddire, Teyayagalanga mikisa, kale gimwesambire ddala!
18
Yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Kakimuyingire mu nda ye ng'amazzi, N'emumagumba ge ng'amafuta.
19
Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.
20
Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange.
21
Naye olongoose ebyange, Ayi Katonda Mukama, olw'erinnya lyo, Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye,
22
Kubanga nze ndi mwavu, nneetaaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
23
Ŋŋenda ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo; Nkuŋŋunta ng'enzige.
24
Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange gukozze.
25
Era nfuuse ekivume gyebali; Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.
26
Onnyambe, Ayi Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli.
27
Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo, Nga ggwe, Mukama, wakikola.
28
Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa, Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka.
29
Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta.
30
Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, Nnamutenderezanga mu kibiina.
31
Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes