Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo. |
| 2 |
| Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo. |
| 3 |
| Abantu bo beewaayo n'omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw'obuyinza bwo: Mu bulungi obw'obutukuvu, olina omusulo ogw'obuvubuka bwo, Oguva mu lubuto lw'enkya. |
| 4 |
| Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. |
| 5 |
| Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe. |
| 6 |
| Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo; Alifumita omutwe mu nsi ennyingi. |
| 7 |
| Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: Kyaliva ayimusa omutwe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/110.mp3
150
110