Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.” 15:25; Beef 1:20-22; Bak 3:1; Beb 1:13; 8:1; 10:12-13 |
| 2 |
| Ng'oli mu Siyooni, Mukama aligaziya obuyinza bwo, n'agamba nti: “Fuga abalabe bo.” |
| 3 |
| Ku lunaku lw'olwanyisa abalabe bo abantu bo balyewaayo okulwana nga beeyagalidde. Abavubuka bo balijja gy'oli, ku nsozi entukuvu, ng'omusulo ogw'oku makya. |
| 4 |
| Mukama talikyusa kye yasuubiza ng'alayira: “Oli Kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.” |
| 5 |
| Mukama ali ku ludda lwo olwa ddyo, bw'alisunguwala, aliwangula bakabaka. |
| 6 |
| Alisala omusango mu mawanga, alijjuza eddwaniro emirambo, aliwangula bakabaka mu nsi zonna. |
| 7 |
| Kabaka alinywa ku nsulo eri ku kkubo, aliddamu amaanyi n'awangula. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/110.mp3
150
110