Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama. Neebaza Mukama n'omutima gwange gwonna abatuukirivu we bakuŋŋaanidde. |
| 2 |
| Mukama by'akola bikulu, ababisanyukira be babyetegereza. |
| 3 |
| Buli kimu ky'akola kijjudde ekitiibwa n'obukulu, obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. |
| 4 |
| Mukama wa kisa era musaasizi, atujjukiza ebikolwa bye ebyewuunyisa. |
| 5 |
| Abamussaamu ekitiibwa abawa ebyokulya, teyeerabira ndaagaano ye n'akatono. |
| 6 |
| Abantu be abalaze obuyinza bwe, ng'abawa ensi y'ab'amawanga amalala. |
| 7 |
| Mu byonna by'akola mwesigwa era mwenkanya, ebiragiro bye tebikyukakyuka. |
| 8 |
| Bibeerawo ennaku zonna, byateekebwawo mu mazima na mu butuukirivu. |
| 9 |
| Yanunula abantu be, n'akola nabo endagaano ey'olubeerera. Mutuukirivu era waakitiibwa |
| 10 |
| Okussaamu Mukama ekitiibwa ye ntandikwa y'amagezi. Bonna abakola bwe batyo, be bategeevu. Mukama wa kutendebwanga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/111.mp3
150
111