Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana. |
| 2 |
| Mukama by’akola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira. |
| 3 |
| Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna. |
| 4 |
| Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira. |
| 5 |
| Agabira abamutya emmere; era ajjukira endagaano ye buli kiseera. |
| 6 |
| Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi; n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga. |
| 7 |
| By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; n’amateeka ge gonna ga bwesigwa, |
| 8 |
| manywevu emirembe gyonna; era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima. |
| 9 |
| Yanunula abantu be; n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa! |
| 10 |
| Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/111.mp3
150
111