×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 111

1
Mutendereze Mukama. Nneebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
2
Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.
3
Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu; N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4
Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo; Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
5
Awa emmere abo abamutya; Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.
6
Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.
7
Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera.
8
Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu.
9
Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna; Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa.
10
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes