Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama! Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge. |
| 2 |
| Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi; omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa. |
| 3 |
| Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi; era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna. |
| 4 |
| Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu, alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu. |
| 5 |
| Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi. |
| 6 |
| Omutuukirivu talinyeenyezebwa, era anajjukirwanga ennaku zonna. |
| 7 |
| Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama. |
| 8 |
| Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga, era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi. |
| 9 |
| Agabidde abaavu bye beetaaga; mutuukirivu ebbanga lyonna; era bonna banaamussangamu ekitiibwa. |
| 10 |
| Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala, n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola. Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/112.mp3
150
112