Luganda Bible
|
| 1 |
| Mumutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama, Mutendereze erinnya lya Mukama. |
| 2 |
| Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. |
| 3 |
| Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga. |
| 4 |
| Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye okusinga eggulu. |
| 5 |
| Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu. |
| 6 |
| Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi? |
| 7 |
| Ayimusa omwavu mu nfuufu, Agolokosa omunafu mu lubungo; |
| 8 |
| Amutuuze wamu n'abalangira, Wamu n'abalangira ab'abantu be. |
| 9 |
| Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/113.mp3
150
113