Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mutendereze Mukama. Mmwe abaweereza ba Mukama, mumutendereze. |
| 2 |
| Erinnya lye litenderezebwe okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. |
| 3 |
| Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba mutendereze erinnya lya Mukama. |
| 4 |
| Mukama ye afuga amawanga gonna, ekitiibwa kye kisinga n'eggulu. |
| 5 |
| Tewali ali nga Mukama Katonda waffe abeera waggulu, |
| 6 |
| n'akutama okutunuulira ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi. |
| 7 |
| Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, abankuseere abayimusa okubaggya ku ntuumu y'ebisasiro, |
| 8 |
| n'abatuuza wamu n'abalangira, abalangira b'abantu be. |
| 9 |
| Aweesa omukazi omugumba ekitiibwa mu maka, n'amusanyusa ng'amuwa okuzaala abaana. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/113.mp3
150
113