×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 113

1
Mutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama.
2
Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
3
Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.
4
Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5
Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu,
6
Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
7
Ayimusa omwavu okuva mu nfuufu, Ajja ali mubwetaavu okuva mu ntuumo y'obusa.
8
N'amutuuza wamu n'abalangira, Abalangira ab'abantu be.
9
Awa omukazi omugumba amaka, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes