Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Abayisirayeli bwe baava e Misiri, ab'ennyumba ya Yakobo nga bazaawuka okuva mu ggwanga eryo, |
| 2 |
| Buyudaaya n'eba ekifo kya Mukama ekitukuvu Yisirayeli n'eba ensi eyiye ku bubwe. |
| 3 |
| Ennyanja Emmyufu yalaba n'eddukawo, Omugga Yorudaani gwaddayo emabega. |
| 4 |
| Ensozi zaabuukabuuka ng'endiga eza sseddume, era n'obusozi ne buligita ng'obuliga. |
| 5 |
| Waba otya okudduka ggwe ennyanja? Yorudaani lwaki ggwe waddayo emabega? |
| 6 |
| Kale mmwe ensozi kiki ekyababuusabuusa ng'endiga eza sseddume? Nammwe obusozi mwaligitira ki ng'obuliga? |
| 7 |
| Kankana ggwe ensi, kubanga Mukama atuuse, atuuse Katonda wa Yakobo, |
| 8 |
| eyafuula olwazi ekidiba ky'amazzi, n'amayinja n'agafuula oluzzi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/114.mp3
150
114