Luganda Bible
|
| 1 |
| Si ffe, ai Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go. |
| 2 |
| Kiki ekinaaba kiboogeza ab'amawanga Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano? |
| 3 |
| Naye Katonda waffe ali mu ggulu: Akoze bye yayagala byonna. |
| 4 |
| Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu. |
| 5 |
| Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; |
| 6 |
| Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza; |
| 7 |
| Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So tebyogeza bulago bwabyo. |
| 8 |
| Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga. |
| 9 |
| Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe. |
| 10 |
| Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe. |
| 11 |
| Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe. |
| 12 |
| Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni. |
| 13 |
| Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu. |
| 14 |
| Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza Mmwe n'abaana bammwe. |
| 15 |
| Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi. |
| 16 |
| Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu. |
| 17 |
| Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika; |
| 18 |
| Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/115.mp3
150
115