Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, ekitiibwa tekigwana ffe, si ffe, wabula kigwana ggwe, olw'ekisa kyo n'obwesigwa bwo. |
| 2 |
| Ab'amawanga amalala lwaki batubuuliriza nti: “Katonda wammwe ali ludda wa?” |
| 3 |
| Katonda waffe mu ggulu gy'abeera, akola byonna by'ayagala. |
| 4 |
| Balubaale baabwe bifaananyi bya ffeeza na zaabu ebyakolebwa abantu. |
| 5 |
| Birina emimwa, naye tebyogera, birina amaaso, naye tebiraba. |
| 6 |
| Birina amatu, naye tebiwulira, birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. |
| 7 |
| Birina engalo, naye tebikwata, birina ebigere, naye tebitambula. |
| 8 |
| Ababikola bafaanana nga byo, buli abyesiga bw'atyo bw'ali. |
| 9 |
| Mmwe abantu ba Yisirayeli, mwesige Mukama, ye abayamba era ye abakuuma. |
| 10 |
| Mmwe ab'ennyumba ya Arooni, mwesige Mukama, ye abayamba era ye abakuuma. |
| 11 |
| Mwesige Mukama mwenna abamussaamu ekitiibwa, ye abayamba era ye abakuuma. |
| 12 |
| Mukama atujjukira. Alituwa omukisa. Aliguwa abantu ba Yisirayeli, aliguwa ab'ennyumba ya Arooni. |
| 13 |
| Aliguwa abamussaamu ekitiibwa, abato era n'abakulu. |
| 14 |
| Mukama abawe mmwe okwala, mmwe n'abaana bammwe. |
| 15 |
| Mukama abawenga omukisa, eyakola eggulu n'ensi. |
| 16 |
| Eggulu eryo lya Mukama, ensi gye yawa abantu. |
| 17 |
| Abafu si be batendereza Mukama, wadde abakkirira emagombe eteri kanyego. |
| 18 |
| Naye ffe abalamu tuneebazanga Mukama, okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/115.mp3
150
115