Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo. |
| 2 |
| Lwaki amawanga gabuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” |
| 3 |
| Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli ky’ayagala. |
| 4 |
| Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa n’emikono gy’abantu. |
| 5 |
| Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba. |
| 6 |
| Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. |
| 7 |
| Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu, |
| 8 |
| abakozi ababikola, n’abo bonna ababyesiga balibifaanana. |
| 9 |
| Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe. |
| 10 |
| Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe. |
| 11 |
| Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe. |
| 12 |
| Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa. Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa; ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa; |
| 13 |
| n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, Mukama anaabawanga omukisa. |
| 14 |
| Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe n’abaana bammwe. |
| 15 |
| Mukama, eyakola eggulu n’ensi, abawe omukisa. |
| 16 |
| Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna. |
| 17 |
| Abafu tebatendereza Mukama, wadde abo abaserengeta emagombe. |
| 18 |
| Naye ffe tunaatenderezanga Mukama, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/115.mp3
150
115