×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 115

1
Si ffe, Ayi Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go.
2
Lwaki amawanga googera, Nti, “ Katonda waabwe ali ludda wa?”
3
Naye Katonda waffe ali mu ggulu; Akoze bye yayagala byonna.
4
Ebifaananyi byabwe bya ffeeza, na zaabu, Ebikolebwa emikono gy'abantu.
5
Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
6
Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7
Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So ne mu bulago bwabyo temuva ddoboozi.
8
Ababikola balibifaanana; Ababyesiga balibifaanana.
9
Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama, Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe.
10
Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama; Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe.
11
Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama, Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe.
12
Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13
Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu.
14
Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza. Mmwe n'abaana bammwe.
15
Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi.
16
Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu.
17
Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;
18
Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes