Luganda Bible
|
| 1 |
| Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange. |
| 2 |
| Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu. |
| 3 |
| Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana. |
| 4 |
| Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange. |
| 5 |
| Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira. |
| 6 |
| Mukama akuuma abo abatalina nkwe: Najeezebwa, n'andokola. |
| 7 |
| Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi. |
| 8 |
| Kubanga omponyezza emmeeme yange okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange obutagwa. |
| 9 |
| Naatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu. |
| 10 |
| Nzikiriza, kubanga ndyogera: Nabonyaabonyezebwa nnyo: |
| 11 |
| Ne njogera nga nnyanguwa Nti Abantu bonna bulimba. |
| 12 |
| Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze? |
| 13 |
| Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikaabira erinnya lya Mukama. |
| 14 |
| Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna. |
| 15 |
| Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama. |
| 16 |
| Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba. |
| 17 |
| Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Era ndikaabira erinnya lya Mukama. |
| 18 |
| Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna; |
| 19 |
| Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/116.mp3
150
116