×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 116

1
Njagala Mukama, kubanga awulira okwegayirira kwange.
2
Ampuliriza, kyennaavanga mmukoowoola mu bulamu bwange bwonna.
3
Akabi ak'okufa kantaayiza, obulumi obw'emagombe ne bunkwata, ne nzijula obuyinike, ne nkaluubirirwa.
4
Kyennava nkoowoola Mukama, nti: “Nkwegayiridde, Mukama, mponya!”
5
Mukama wa kisa era mulungi, Katonda waffe musaasizi.
6
Mukama akuuma abatalina nkwe: bwe natoowazibwa, n'andokola.
7
Omutima ka gunzire mu nteeko, Mukama ankwatiddwa ekisa kingi.
8
Mukama amponyezza okufa, n'ansangula amaziga. Era amponyezza okusirittuka ne ngwa.
9
Kyenva ntambulira mu maaso ga Mukama, nga ndi mu nsi y'abalamu.
10
Nasigaza okukkiriza ne bwe nagamba nti: “Mbonyeebonye nnyo!”
11
Era ne bwe nagamba nti: “Teri muntu yeesigibwa!”
12
Kiki kye ndiwa Mukama, olw'ebirungi by'ankoledde nze?
13
Ndisitula ekikopo okwebaza Mukama olw'okundokola.
14
Mu maaso g'abantu be bonna, ndimuwa kye mmusuubizza.
15
Mu maaso ga Mukama okufa kw'abatuukirivu be kuba kwa muwendo nnyo.
16
Ndi muweereza wo, ayi Mukama, nga mmange bwe yali. Omponyezza okufa.
17
Ndikuwa ekitambiro okukwebaza, ne nkukoowoola, ayi Mukama.
18
Ndiwa Mukama kye namusuubiza, ndikimuweera mu maaso g'abantu be bonna,
19
mu mpya z'ennyumba ye, wakati mu ggwe Yerusaalemu. Mutendereze Mukama!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes