Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange. |
| 2 |
| Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu. |
| 3 |
| Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya. |
| 4 |
| Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama, ndokola.” |
| 5 |
| Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe ajjudde okusaasira. |
| 6 |
| Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola. |
| 7 |
| Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli. |
| 8 |
| Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba; n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala, |
| 9 |
| ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi ey’abalamu. |
| 10 |
| Nakkiriza kyennava njogera nti, “Numizibbwa nnyo.” |
| 11 |
| Ne njogera nga nterebuse nti, “Abantu bonna baliraba.” |
| 12 |
| Mukama ndimusasula ntya olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde? |
| 13 |
| Nditoola ekikompe eky’obulokozi, ne nkoowoola erinnya lya Mukama. |
| 14 |
| Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna. |
| 15 |
| Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama. |
| 16 |
| Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna. |
| 17 |
| Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama. |
| 18 |
| Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna, |
| 19 |
| mu mpya z’ennyumba ya Mukama; wakati wo, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/116.mp3
150
116