EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange. |
| 2 |
| Kubanga antegedde okutu, Kyenaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu. |
| 3 |
| Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata; Ne ndaba ennaku n'okutegana. |
| 4 |
| Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti, “Ayi Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.” |
| 5 |
| Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe alina okusaasira. |
| 6 |
| Mukama akuuma abo abatalina nkwe; Nnajeezebwa, n'andokola. |
| 7 |
| Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi. |
| 8 |
| Kubanga owonyezza emmeeme okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange okwesittala. |
| 9 |
| Nnaatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu. |
| 10 |
| Nnakuuma okukkiriza, ne bwe n'agamba, Nti, “ Mbonyeebonye nnyo.” |
| 11 |
| Ne njogera mu kusoberwa, Nti, “Abantu bonna balimba. |
| 12 |
| Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze? |
| 13 |
| Nditoola ekikompe eky'obulokozi, Ne nkoowoola erinnya lya Mukama. |
| 14 |
| Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g'abantu be bonna. |
| 15 |
| Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama. |
| 16 |
| Ayi Mukama, ndi muddu wo; Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba. |
| 17 |
| Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Ne nkoowoola erinnya lya Mukama. |
| 18 |
| Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g'abantu be bonna; |
| 19 |
| Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/116.mp3
150
116