×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 118

1
Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2
Isiraeri ayogere kaakano Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
3
Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4
Abo abatya Mukama boogere kaakano Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5
Bwe nnali mu nnaku ne nkoowoola Mukama; Mukama n'ampitaba, n'agimponya.
6
Mukama ali ku luuyi lwange, sitya. Abantu bayinza kunkola ki?
7
Mukama ali ku luuyi lwange okunnyamba; Abalabe bange nnaabatunuuliranga n'amaaso ag'obuwanguzi.
8
Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu.
9
Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira.
10
Amawanga gonna ganneetoolodde, Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
11
Ganneetoolodde, ganneetoolodde buli ludda; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
12
Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa; Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.
13
Bannumba n'amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa; Naye Mukama n'annyamba.
14
Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; afuuse obulokozi bwange.
15
Muwulire, ennyimba ez'obuwanguzi ziri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
16
Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa; Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
17
Sijja kufa, naye nja kuba mulamu, Era nnaabuuliranga emirimu gya Mukama.
18
Mukama ambonerezza nnyo, Naye tampaddeyo kufa.
19
Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu; Nnyingire, nneebaze Mukama.
20
Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu.
21
Nkwebaza, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange.
22
Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
23
Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe.
24
Luno lwe lunaku Mukama lw'akoze; Tusanyuke, tulujagulizeeko.
25
Tulokole, tukwegayiridde, Ayi Mukama; Ayi Mukama, tukwegayiridde, otuwe obuwanguzi.
26
Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27
Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana; Mukumbire wamu nga mukutte amatabi, ekiweebwayo kyammwe kituukire ddala ku mayembe g'ekyoto.
28
Ggwe oli Katonda wange, nange nnaakwebazanga; Ggwe oli Katonda wange, nnaakugulumizanga.
29
Kale mumwebaze Mukama, kubanga mulungi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes