|
| 1 |
|
| Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, Abatambulira mu mateeka ga Mukama. |
|
| 2 |
|
| Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna. |
|
| 3 |
|
| Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; Batambulira mu makubo ge. |
|
| 4 |
|
| Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga nnyo. |
|
| 5 |
|
| Singa amakubo gange ganywedde Okukwata amateeka go! |
|
| 6 |
|
| Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna. |
|
| 7 |
|
| Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 8 |
|
| Naakwatanga amateeka go: Nkwegayiridde, tondekera ddala. |
|
| 9 |
|
| BEESI: Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 10 |
|
| N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira. |
|
| 11 |
|
| Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go. |
|
| 12 |
|
| Weebazibwa, ai Mukama: Onjigirizenga amateeka go. |
|
| 13 |
|
| N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwako. |
|
| 14 |
|
| Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna. |
|
| 15 |
|
| Naafumiitirizanga ebiragiro byo. Era naalowoozanga amakubo go. |
|
| 16 |
|
| Naasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. |
|
| 17 |
|
| GIMERI: Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo. |
|
| 18 |
|
| Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go. |
|
| 19 |
|
| Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira. |
|
| 20 |
|
| Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna. |
|
| 21 |
|
| Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira. |
|
| 22 |
|
| Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga neekuumye bye wategeeza. |
|
| 23 |
|
| Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go. |
|
| 24 |
|
| Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo. |
|
| 25 |
|
| DALESI: Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kyo bwe kiri. |
|
| 26 |
|
| Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go. |
|
| 27 |
|
| Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumutiriza emirimu gyo egy'ekitalo. |
|
| 28 |
|
| Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 29 |
|
| Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa. |
|
| 30 |
|
| Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange. |
|
| 31 |
|
| Neegatta n'ebyo bye wategeeza: Ai Mukama, tonkwasa nsonyi. |
|
| 32 |
|
| HE: Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange. |
|
| 33 |
|
| Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero. |
|
| 34 |
|
| Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna. |
|
| 35 |
|
| Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira. |
|
| 36 |
|
| Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba. |
|
| 37 |
|
| Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go. |
|
| 38 |
|
| Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe. |
|
| 39 |
|
| Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi. |
|
| 40 |
|
| Laba, neegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. |
|
| 41 |
|
| VAWU: Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 42 |
|
| Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga neesiga ekigambo kyo. |
|
| 43 |
|
| So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo. |
|
| 44 |
|
| Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe. |
|
| 45 |
|
| Era naatambulanga nga neeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo. |
|
| 46 |
|
| Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne sikwatibwa nsonyi. |
|
| 47 |
|
| Era naasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga: |
|
| 48 |
|
| Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era naafumiitirizanga mateeka go. |
|
| 49 |
|
| ZAYINI: Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza. |
|
| 50 |
|
| Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza. |
|
| 51 |
|
| Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go. |
|
| 52 |
|
| Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama, Ne nneesanyusa. |
|
| 53 |
|
| Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go. |
|
| 54 |
|
| Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange. |
|
| 55 |
|
| Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama, Era nakwatanga amateeka go. |
|
| 56 |
|
| Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. |
|
| 57 |
|
| KEESI: Mukama gwe mugabo gwange: Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo. |
|
| 58 |
|
| Nasaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 59 |
|
| Nalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza. |
|
| 60 |
|
| Nayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira. |
|
| 61 |
|
| Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye seerabidde mateeka go. |
|
| 62 |
|
| Mu ttumbi naagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 63 |
|
| Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo. |
|
| 64 |
|
| Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. |
|
| 65 |
|
| TEESI: Okoledde ebirungi omuddu wo, Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 66 |
|
| Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira. |
|
| 67 |
|
| Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo. |
|
| 68 |
|
| Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go. |
|
| 69 |
|
| Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo. |
|
| 70 |
|
| Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go. |
|
| 71 |
|
| Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go. |
|
| 72 |
|
| Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. |
|
| 73 |
|
| YODI: Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira. |
|
| 74 |
|
| Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga naasuubiranga elugambo kyo. |
|
| 75 |
|
| Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa. |
|
| 76 |
|
| Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo. |
|
| 77 |
|
| Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa. |
|
| 78 |
|
| Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo. |
|
| 79 |
|
| Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza. |
|
| 80 |
|
| Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. |
|
| 81 |
|
| KAFU: Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo. |
|
| 82 |
|
| Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi? |
|
| 83 |
|
| Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye seerabira mateeka go. |
|
| 84 |
|
| Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya? |
|
| 85 |
|
| Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go. |
|
| 86 |
|
| Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe. |
|
| 87 |
|
| Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo. |
|
| 88 |
|
| Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. |
|
| 89 |
|
| LAMEDI: Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu. |
|
| 90 |
|
| Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo. |
|
| 91 |
|
| Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo. |
|
| 92 |
|
| Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa. |
|
| 93 |
|
| Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo. |
|
| 94 |
|
| Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo. |
|
| 95 |
|
| Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza. |
|
| 96 |
|
| Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. |
|
| 97 |
|
| MEMU: Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde. |
|
| 98 |
|
| Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna. |
|
| 99 |
|
| Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza. |
|
| 100 |
|
| Ntegeera okukira abakadde, Kubanga neekuumanga ebiragiro byo. |
|
| 101 |
|
| Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo. |
|
| 102 |
|
| Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga. |
|
| 103 |
|
| Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange! |
|
| 104 |
|
|
Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba.
|
|
| 105 |
|
| NUUNI: Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange. |
|
| 106 |
|
| Nalayira, era nkikakasizza kino, Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 107 |
|
| Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 108 |
|
| Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo. |
|
| 109 |
|
| Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye seerabira mateeka go. |
|
| 110 |
|
| Ababi bantegedde omutego; Naye sikyamanga kuleka biragiro byo. |
|
| 111 |
|
| Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggavaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange. |
|
| 112 |
|
|
Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero.
|
|
| 113 |
|
| SAMEKI: Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala. |
|
| 114 |
|
| Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo. |
|
| 115 |
|
| Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke neekuumeaga Katonda wange bye yalagira. |
|
| 116 |
|
| Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange. |
|
| 117 |
|
| Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe, Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna. |
|
| 118 |
|
| Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba. |
|
| 119 |
|
| Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza. |
|
| 120 |
|
|
Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo.
|
|
| 121 |
|
| AYINI: Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukuivu: Tondekera abo abanjooga. |
|
| 122 |
|
| Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga. |
|
| 123 |
|
| Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu. |
|
| 124 |
|
| Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go. |
|
| 125 |
|
| Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza. |
|
| 126 |
|
| Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibiza amateeka go. |
|
| 127 |
|
| Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi. |
|
| 128 |
|
|
Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba.
|
|
| 129 |
|
| PE: Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma. |
|
| 130 |
|
| Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi. |
|
| 131 |
|
| Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira. |
|
| 132 |
|
| Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo. |
|
| 133 |
|
| Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga. |
|
| 134 |
|
| Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwataaga ebiragiro byo. |
|
| 135 |
|
| Oyakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go. |
|
| 136 |
|
|
Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go.
|
|
| 137 |
|
| TIZADDE: Oli mutuukirivu, ai Mukama, N'emisango gyo gya nsonga. |
|
| 138 |
|
| Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala. |
|
| 139 |
|
| Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo. |
|
| 140 |
|
| Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala. |
|
| 141 |
|
| Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye seerabira biragiro byo. |
|
| 142 |
|
| Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima. |
|
| 143 |
|
| Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa. |
|
| 144 |
|
|
Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu.
|
|
| 145 |
|
| KOOFU: Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama: Naakuumanga amateeka go. |
|
| 146 |
|
| Nkukoowodde; ondokole, Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza. |
|
| 147 |
|
| Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nasuubira ebigambo byo. |
|
| 148 |
|
| Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo. |
|
| 149 |
|
| Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri: |
|
| 150 |
|
| Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go. |
|
| 151 |
|
| Ggwe oli kumpi, ai Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima. |
|
| 152 |
|
|
Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna.
|
|
| 153 |
|
| REESI: Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go. |
|
| 154 |
|
| Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 155 |
|
| Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go. |
|
| 156 |
|
| Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri. |
|
| 157 |
|
| Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza. |
|
| 158 |
|
| Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo. |
|
| 159 |
|
| Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, ai Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri. |
|
| 160 |
|
|
Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna.
|
|
| 161 |
|
| SINI: Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo. |
|
| 162 |
|
| Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi. |
|
| 163 |
|
| Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala. |
|
| 164 |
|
| Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 165 |
|
| Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza. |
|
| 166 |
|
| Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama, Era nkoze bye walagira. |
|
| 167 |
|
| Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo. |
|
| 168 |
|
|
Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
|
|
| 169 |
|
| TAWU: Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 170 |
|
| Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 171 |
|
| Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go. |
|
| 172 |
|
| Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu. |
|
| 173 |
|
| Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo. |
|
| 174 |
|
| Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa. |
|
| 175 |
|
| Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga. |
|
| 176 |
|
| Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga seerabira bye walagira. |
|
|
|
|