|
| 1 |
|
| Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu, Abatambulira mu mateeka ga Mukama. |
|
| 2 |
|
| Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwabwe gwonna. |
|
| 3 |
|
| era abatasobya, Naye abatambulira mu makubo ge. |
|
| 4 |
|
| Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga n'obwegendereza. |
|
| 5 |
|
| Singa amakubo gange ganywedde Mu kukwata ebiragiro byo! |
|
| 6 |
|
| Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna. |
|
| 7 |
|
| Nnaakutenderezanga n'omutima omulungi, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 8 |
|
| Nnaakwatanga amateeka go; Nkwegayiridde, tondekera ddala. BEESI |
|
| 9 |
|
| Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 10 |
|
| N'omutima gwange gwonna nkunoonya; Tonzikiriza okukyama okuva ku mateeka go. |
|
| 11 |
|
| Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go. |
|
| 12 |
|
| Weebazibwa, Ayi Mukama; Onjigirizenga amateeka go. |
|
| 13 |
|
| N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwa ko. |
|
| 14 |
|
| Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna. |
|
| 15 |
|
| Nnaafumiitirizanga ebiragiro byo. Era nnaalowoozanga amakubo go. |
|
| 16 |
|
| Nnaasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. GIMERI |
|
| 17 |
|
| Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo. |
|
| 18 |
|
| Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go. |
|
| 19 |
|
| Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira. |
|
| 20 |
|
| Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna. |
|
| 21 |
|
| Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira. |
|
| 22 |
|
| Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga nneekuumye bye wategeeza. |
|
| 23 |
|
| Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nnafumiitiriza amateeka go. DALESI |
|
| 24 |
|
| Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo. |
|
| 25 |
|
| Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 26 |
|
| Nnayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go. |
|
| 27 |
|
| Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumiitiriza emirimu gyo egy'ekitalo. |
|
| 28 |
|
| Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 29 |
|
| Onziggyeeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa. |
|
| 30 |
|
| Nneerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange. |
|
| 31 |
|
| Nneegatta n'ebyo bye wategeeza: Ayi Mukama, tonkwasa nsonyi. |
|
| 32 |
|
| Nnaddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange. HE |
|
| 33 |
|
| Onjigirize, Ayi Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange nnaalyekuumanga okutuusa enkomerero. |
|
| 34 |
|
| Ompe amagezi, nange nneekuumanga amateeka go; Weewaawo, nnaagakwatanga n'omutima gwange gwonna. |
|
| 35 |
|
| Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira. |
|
| 36 |
|
| Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba. |
|
| 37 |
|
| Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go. |
|
| 38 |
|
| Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe. |
|
| 39 |
|
| Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi |
|
| 40 |
|
| Laba, nneegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. VAWU |
|
| 41 |
|
| Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, Ayi Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 42 |
|
| Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga nneesiga ekigambo kyo. |
|
| 43 |
|
| So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga nnaasuubiranga emisango gyo. |
|
| 44 |
|
| Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe. |
|
| 45 |
|
| Era nnaatambulanga nga nneeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo. |
|
| 46 |
|
| Era nnaayongeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne ssikwatibwa nsonyi. |
|
| 47 |
|
| Era nnaasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga. |
|
| 48 |
|
| Era nnaayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era nnaafumiitirizanga amateeka go. ZAYINI |
|
| 49 |
|
| Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza. |
|
| 50 |
|
| Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza. |
|
| 51 |
|
| Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go. |
|
| 52 |
|
| Njijukidde emisango gyo egy'edda, Ayi Mukama, Ne nneesanyusa. |
|
| 53 |
|
| Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go. |
|
| 54 |
|
| Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange. |
|
| 55 |
|
| Nnajjukiranga erinnya lyo ekiro, Ayi Mukama, Era nnakwatanga amateeka go. |
|
| 56 |
|
| Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. KEESI |
|
| 57 |
|
| Mukama gwe mugabo gwange: N'ayogera nga nnaakwatanga ebigambo byo. |
|
| 58 |
|
| N'asaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 59 |
|
| Nnalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza. |
|
| 60 |
|
| N'ayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira. |
|
| 61 |
|
| Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye sseerabidde mateeka go. |
|
| 62 |
|
| Mu ttumbi nnaagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 63 |
|
| Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo. |
|
| 64 |
|
| Ayi Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. TEESI |
|
| 65 |
|
| Okoledde ebirungi omuddu wo, Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 66 |
|
| Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nnakkirizanga ebyo bye walagira. |
|
| 67 |
|
| Nga ssinnabonyaabonyezebwa, nnakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo. |
|
| 68 |
|
| Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go. |
|
| 69 |
|
| Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna nneekuumanga ebiragiro byo. |
|
| 70 |
|
| Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go. |
|
| 71 |
|
| Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go. |
|
| 72 |
|
| Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. YODI |
|
| 73 |
|
| Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira. |
|
| 74 |
|
| Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga nnaasuubiranga ekigambo kyo. |
|
| 75 |
|
| Mmanyi, Ayi Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa. |
|
| 76 |
|
| Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo. |
|
| 77 |
|
| Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa. |
|
| 78 |
|
| Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye nnaafumiitirizanga ebiragiro byo. |
|
| 79 |
|
| Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza. |
|
| 80 |
|
| Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. KAFU |
|
| 81 |
|
| Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo. |
|
| 82 |
|
| Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi? |
|
| 83 |
|
| Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye sseerabira mateeka go. |
|
| 84 |
|
| Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya? |
|
| 85 |
|
| Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go. |
|
| 86 |
|
| Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe. |
|
| 87 |
|
| Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo. |
|
| 88 |
|
| Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. LAMEDI |
|
| 89 |
|
| Emirembe gyonna, Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu. |
|
| 90 |
|
| Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo. |
|
| 91 |
|
| Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo. |
|
| 92 |
|
| Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nnandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa. |
|
| 93 |
|
| Sseerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo. |
|
| 94 |
|
| Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga nnaanoonyanga ebiragiro byo. |
|
| 95 |
|
| Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze nnaalowoozanga bye wategeeza. |
|
| 96 |
|
| Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. MEMU |
|
| 97 |
|
| Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde. |
|
| 98 |
|
| Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna. |
|
| 99 |
|
| Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza. |
|
| 100 |
|
| Ntegeera okukira abakadde, Kubanga nneekuumanga ebiragiro byo. |
|
| 101 |
|
| Nnaaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo. |
|
| 102 |
|
| Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga. |
|
| 103 |
|
| Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange! |
|
| 104 |
|
| Ebiragiro byo bye bindetera okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba. NUUNI |
|
| 105 |
|
| Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange. |
|
| 106 |
|
| Nnalayira, era nkikakasizza kino, Nga nnaakwatanga emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 107 |
|
| Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 108 |
|
| Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, Ayi Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo. |
|
| 109 |
|
| Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye sseerabira mateeka go. |
|
| 110 |
|
| Ababi bantegedde omutego; Naye ssikyamanga kuleka biragiro byo. |
|
| 111 |
|
| Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange. |
|
| 112 |
|
| Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero. SAMEKI |
|
| 113 |
|
| Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala. |
|
| 114 |
|
| Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo. |
|
| 115 |
|
| Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke nneekuumenga Katonda wange bye yalagira. |
|
| 116 |
|
| Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange. |
|
| 117 |
|
| Ggwe ompanirire, nange nnaabeerangawo mirembe, Era nneegenderezanga amateeka go ennaku zonna. |
|
| 118 |
|
| Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba. |
|
| 119 |
|
| Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza. |
|
| 120 |
|
| Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo. AYINI |
|
| 121 |
|
| Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukirivu: Tondekera abo abanjooga. |
|
| 122 |
|
| Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga. |
|
| 123 |
|
| Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu. |
|
| 124 |
|
| Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go. |
|
| 125 |
|
| Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza. |
|
| 126 |
|
| Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibizza amateeka go. |
|
| 127 |
|
| Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi. |
|
| 128 |
|
| Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. PE |
|
| 129 |
|
| Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma. |
|
| 130 |
|
| Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi. |
|
| 131 |
|
| Nnayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nnayaayaanira ebyo bye walagira. |
|
| 132 |
|
| Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo. |
|
| 133 |
|
| Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga. |
|
| 134 |
|
| Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ebiragiro byo. |
|
| 135 |
|
| Oyaakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go. |
|
| 136 |
|
| Amaaso gange gakulukuta emigga gy'amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go. TIZADDE |
|
| 137 |
|
| Oli mutuukirivu, Ayi Mukama, N'emisango gyo gya nsonga. |
|
| 138 |
|
| Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala. |
|
| 139 |
|
| Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo. |
|
| 140 |
|
| Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala. |
|
| 141 |
|
| Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye sseerabira biragiro byo. |
|
| 142 |
|
| Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima. |
|
| 143 |
|
| Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa. |
|
| 144 |
|
| Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange nnaabeeranga mulamu. KOOFU |
|
| 145 |
|
| Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, Ayi Mukama: Nnaakuumanga amateeka go. |
|
| 146 |
|
| Nkukoowodde; ondokole, Nange nnaakwatanga ebyo bye wategeeza. |
|
| 147 |
|
| Nnakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nnasuubira ebigambo byo. |
|
| 148 |
|
| Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo. |
|
| 149 |
|
| Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'emisango gyo bwe giri: |
|
| 150 |
|
| Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go. |
|
| 151 |
|
| Ggwe oli kumpi, Ayi Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima. |
|
| 152 |
|
| Edda n'edda nnamanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna. REESI |
|
| 153 |
|
| Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go. |
|
| 154 |
|
| Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 155 |
|
| Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go. |
|
| 156 |
|
| Okusaasira kwo okulungi kungi, Ayi Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri. |
|
| 157 |
|
| Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye sseekooloobyanga kuleka bye wategeeza. |
|
| 158 |
|
| Nnalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo. |
|
| 159 |
|
| Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri. |
|
| 160 |
|
| Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna. SINI |
|
| 161 |
|
| Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo. |
|
| 162 |
|
| Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi. |
|
| 163 |
|
| Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala. |
|
| 164 |
|
| Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga. |
|
| 165 |
|
| Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza. |
|
| 166 |
|
| Nsuubidde obulokozi bwo, Ayi Mukama, Era nkoze bye walagira. |
|
| 167 |
|
| Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo. |
|
| 168 |
|
| Nnaakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. TAWU |
|
| 169 |
|
| Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, Ayi Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 170 |
|
| Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri. |
|
| 171 |
|
| Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go. |
|
| 172 |
|
| Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu. |
|
| 173 |
|
| Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo. |
|
| 174 |
|
| Njaayaanidde obulokozi bwo, Ayi Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa. |
|
| 175 |
|
| Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga, |
|
| 176 |
|
| Nnakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga sseerabira bye walagira. |
|
|
|
|