Luganda Bible
|
| 1 |
| Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo; Kubanga abakkiriza bakendeera mu baana b'abantu. |
| 2 |
| Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne: Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri: |
| 3 |
| Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza, N'olulimi olwogera ebikulu: |
| 4 |
| Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula; Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani? |
| 5 |
| Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu, Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera; Naamuteeka mu mirembe gwe basooza. |
| 6 |
| Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, Erongoosebwa emirundi omusanvu. |
| 7 |
| Onoobakuumanga, ai Mukama, Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna. |
| 8 |
| Ababi batambula ku njuyi zonna, Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b'abantu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/012.mp3
150
12