Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama tuyambe, kubanga abalungi baweddewo, amazima gawedde mu bantu. |
| 2 |
| Balimbagana ne bawaanagana, boogera kino nga bategeeza kirala. |
| 3 |
| Ayi Mukama, sirisa aboogera ebiwaanawaana, ggala akamwa k'abo abeetenda, abagamba nti: |
| 4 |
| “Olulimi lwaffe ge maanyi gaffe, tujja kwogera buli kye twagala. Ani ayinza okutuziyiza?” |
| 5 |
| Mukama agamba nti: “Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe, n'abayigganyizibwa basinda, nja kusituka mbakuume nga bwe beegomba.” |
| 6 |
| Mukama by'asuubiza bya mazima, biri nga ffeeza ayooyooteddwa mu kyoto ky'omuliro, n'atukuzibwa emirundi musanvu. |
| 7 |
| Ayi Mukama, tukuumenga bulijjo, otuwonye ababi ab'omulembe guno. |
| 8 |
| Ababi babunye buli wantu, ekibi kye kitendebwa mu bantu! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/012.mp3
150
12