Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda; abantu abeesigwa bonna baweddewo. |
| 2 |
| Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba. |
| 3 |
| Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana, na buli lulimi olwenyumiriza; |
| 4 |
| nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.” |
| 5 |
| Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.” |
| 6 |
| Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba. |
| 7 |
| Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga, n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna. |
| 8 |
| Ababi beeyisaayisa nga bagulumiza ebitaliimu nsa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/012.mp3
150
12