EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Yamba, Mukama; kubanga abatya Katonda baggwaawo, ab'amazima bakendeera mu bantu. |
| 2 |
| Balimbagana ne bawaanagana mu bukuusa, Boogera n'emitima ebiri. |
| 3 |
| Mukama sirisa aboogera eby'okwenyumiriza, Aboogera eby'okwegulumiza. |
| 4 |
| Aboogera nti, “N'olulimi lwaffe ge maanyi gaffe, Tujja kwogera buli kye twagala, ani ayinza okutuziyiza?” |
| 5 |
| Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe, abali mu bwetaavu basinda, Kaakano nnaayimuka, Mukama bw'ayogera. Nnaamuteeka mu bukuumi bwe yeegomba. |
| 6 |
| Mukama by'asuubiza bya mazima, Biri nga ffeeza eyisiddwa mu kyoto ky'omuliro, Erongooseddwa emirundi omusanvu. |
| 7 |
| Ayi Mukama, tukuumenga bulijjo, Otuwonye ababi ab'omulembe guno. |
| 8 |
| Ababi babunye buli wantu, N'obugwagwa bwe bugulumizibwa mu bantu! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/012.mp3
150
12