EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mu kunakuwala kwange, nkoowoola Mukama, Nange anziremu. |
| 2 |
| Mponya, Ayi Mukama, eri emimwa egy'obulimba, N'eri olulimi olw'obukuusa. |
| 3 |
| Oliweebwa ki, kiki ekinakukolebwako nate, Ggwe olulimi olw'obukuusa? |
| 4 |
| Obusaale obw'obwogi obw'abazira, Era n'amanda ag'entaseesa. |
| 5 |
| Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki Kubanga ntuula mu weema za Kedali! |
| 6 |
| Mbadde ennaku nnyingi Awamu n'abantu abakyawa emirembe. |
| 7 |
| Nze njagala emirembe; Naye bwe njogera, baagala lutalo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/120.mp3
150
120