×

Luganda Bible

Zabbuli 121

1
Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa?
2
Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
3
Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga.
4
Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga.
5
Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.
6
Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro.
7
Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.
8
Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes