×

Luganda Bible

Zabbuli 122

1
Nasanyuka bwe baŋŋamba nti Tugende mu nnyumba ya Mukama.
2
Ebigere byaffe biyimiridde Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi;
3
Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu:
4
Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama, Okuba obujulirwa eri Isiraeri, Okwebazanga erinnya lya Mukama.
5
Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango, Entebe ez'ennyumba ya Dawudi.
6
Musabirenga Yerusaalemi emirembe: Baliraba omukisa abakwagala.
7
Emirembe gibeere mu bisenge byo, N'omukisa mu mayu go.
8
Ku lwa baganda bange ne bannange Naayogera kaakano nti Emirembe gibeere mu ggwe.
9
Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe Naagezangako okukukola obulungi.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes