×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 122

1
N'asanyuka bwe baŋŋamba Nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama.”
2
Ebigere byaffe biyimiridde Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi;
3
Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu.
4
Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama, Okuba obujulirwa eri Isiraeri, Okwebazanga erinnya lya Mukama.
5
Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango, Entebe ez'ennyumba ya Dawudi.
6
Musabirenga Yerusaalemi emirembe; Baliraba omukisa abakwagala.
7
Emirembe gibeere mu bisenge byo, N'omukisa mu mayu go.
8
Ku lwa baganda bange ne bannange Nnaayogera kaakano nti, “Emirembe gibeere mu ggwe.”
9
Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe Nnaanoonyanga obulungi bwo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes