EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Eri ggwe nnyimusa amaaso gange, Ayi ggwe atuula mu ggulu. |
| 2 |
| Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira. |
| 3 |
| Otusaasire, Ayi Mukama, otusaasire: Kubanga tunyoomebwa nnyo ddala. |
| 4 |
| Emmeeme yaffe ejjudde nnyo ennaku, Olw'okuduulirwa abo abalina emirembe, N'okunyoomebwa abo ab'amalala. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/123.mp3
150
123