×

Luganda Bible

Zabbuli 124

1
Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano;
2
Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako:
3
Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako:
4
Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe:
5
Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
6
Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
7
Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi: Omutego gukutuse, naffe tuwonye.
8
Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes