Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Singa Mukama teyali ku ludda lwaffe, Yisirayeli eyogere kaakano, |
| 2 |
| singa Mukama teyali ku ludda lwaffe, abantu bwe baatusitukiramu, |
| 3 |
| banditumize tuli balamu, ng'obusungu bwe baatulinako bubuubuuka! |
| 4 |
| Mukoka yanditwezeewo, amazzi ganditubisse. |
| 5 |
| Amazzi agayira ganditusaanyizzaawo. |
| 6 |
| Mukama yeebazibwe atatugabudde mu balabe baffe. |
| 7 |
| Tuwonye omutego gw'omutezi. Omutego gukutuse ffe ne tuwona. |
| 8 |
| Mukama ye atuyamba, eyakola eggulu n'ensi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/124.mp3
150
124