EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Singa Mukama si ye yali ku ludda lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano; |
| 2 |
| Singa Mukama si ye yali ku ludda lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako, |
| 3 |
| Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako; |
| 4 |
| Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe; |
| 5 |
| Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe. |
| 6 |
| Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe. |
| 7 |
| Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi; Omutego gukutuse, naffe tuwonye. |
| 8 |
| Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/124.mp3
150
124