×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 125

1
Abeesiga Mukama baliŋŋaanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.
2
Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.
3
Kubanga ababi tebalifuga, mu nsi ya batuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana.
4
Obakolenga ebirungi, Ayi Mukama, abalungi, N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa.
5
Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere mu Isiraeri.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes