×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 126

1
Mukama bwe yaggyawo obusibe bwa Sayuuni, Ne tufaanana ng'abo abaloota.
2
Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe ne luyimba olw'essanyu, Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.”
3
Mukama atukoledde ebikulu; Kyetuvudde tusanyuka.
4
Okomyewo nate emikisa gyaffe, Ayi Mukama, Ng'emigga egikulukutira mu bukiikaddyo.
5
Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.
6
Newakubadde nga yagenda ng'akaaba, ng'atwala ensigo; Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes