EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere. Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere. |
| 2 |
| Muteganira bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka, Era bwe mulya emmere ey'okutegana, Kubanga abaagalwa be abawa otulo. |
| 3 |
| Laba, abaana bwe busika bwa Mukama; N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye. |
| 4 |
| Ng'obusaale bwe bubeera mu mukono gw'omuzira, Abaana ab'omu buvubuka bwe bali bwe batyo. |
| 5 |
| Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo; Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/127.mp3
150
127